Amawulire
Katikiro akubiriza obuganda okukkiriza okugemebwa ekirwadde kya Covid-19
Bya Prossy Kisakye,
Kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde bannauganda okwewala engambo ezitalina mitwe na magulu ku ddagala lya AstraZeneca eligema ekirwadde ekya covid19.
Okwogera bino abadde Bulange Mengo mu kugemebwa ekirwadde kya covid-19 nagamba nti abantu bangi balina endowooza nti eddagala lino lyakolebwa kutta bafirica ekitali kituufu kuba nábazungu abalikola balyekuba
Akowodde obuganda okwetanira entekateeka eno bagemebwe basobole okuba abalamu
Mungeri yemu ne minisita wa Buganda akola ku byobulamu Prosperous Nankindu Kavuma akubiriza bannauganda okusigala nga bagoberera ebiragiro ebyayisibwa mu kulwanyisa ekirwadde kino yadde nga eddagala lizze