Amawulire

Katemba nga Lukwago atongoza ebitaala

Ali Mivule

February 26th, 2014

No comments

traffic lights new

Nate Katemba abadde ku luguudo lwa Kabaka njagala KCCA gyebadde egenze okutongoza ebitaala byokunguudo, nga kino kidiridde ba

kansala okwekandagga nebava ku mukolo, omuloodi wa kampala Ssalongo Erias Lukwago bwazze naye okugwetabako .

Abakozi mu kcca bonna babuzeewo ,olwo aba Lukwago nebidiza omukolo era loodi Meeya natangoza ebitaala bino.

Wano Loodi mayor wategerezza nga bwabadde tayinza kutuulabutuuzi nga kawefube we gweyatongoza agenda maasosonga yye yemutwe omukulu. 

Ono era asabye embalirira okuva mu KCCA ku bitaala bino, nti kubanga abantu basaana okumanya ssente meka ezisasanyiziddwa ku nkulakulana eno.