Amawulire

Kassanda: Omusirikale attiddwa ku kkomero lyaba-China

Kassanda: Omusirikale attiddwa ku kkomero lyaba-China

Ivan Ssenabulya

October 17th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu kitundu kya Wamala eriko emmundu 2 zenunudde, oluvanyuma lwobubbi obwabadde ku kkolero lya Zian Duomi mu disitulikiti ye Kassanda.

Mu bubbi buno mufiriddemu omusirikale wa poliisi ku daala lya constable atenga abalala balumiziddwa.

Omwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga agambye nti abazigu 15 balumbye ekkolero lino nga bakakatanye namajambiya nebissi, nebasala olukomera nebayingira.

Ekkolero lino lyamabaawo na plywood, nga lisangibwa Kigarama mu gombolola ye Myanzi e Kassanda.

Abazigu bakubye omusirkale amasasi Amuko Ronald, nebamutta atenga abalumizidda kuliko Obed Rukundo ne Peter Muwanguzi ngoluvanyuma bakuliise nemmundu 3.

Enanga agambye nti babbye ne ssente obukadde 7 okuva mu wofiisi yakulira ekkolero lino Shi Wenxia.