Amawulire

Kasibante azzeemu okukwatibwa

Ali Mivule

January 17th, 2014

No comments

Kasibante to luzira

Omubaka akiikirira abantu be Lubaga mu bukiika kkono Moses Kasibante azzeemu okukwatibwa

Ono abadde ayimbuddwa  oluvanyuma lw’okweyimirirwa  ku bukadde bw’ensimbi 3 ezabuliwo  n’abamweyimiridde okuli  mubaka munne Medard Lubega Ssegona ne kansala w’eLungujja Baluddewo Sam ku bukadde 50 buli omu  ezitali zabuliwo.

Wabula omubaka wa municipali ye Mukono Betty Nambooze ategezezza nga bwekibabuseeko bwebabadde bagenze okufuna ssente z’okumweyimirira ate nebasanga nga aguddwako emisango emirala egy’okukuba enkungana ezimenya amateeka .

Oluvanyuma amaz n’avunaanibwa era n’ayimbulwa