Amawulire

Kansala we Kabowa awonye luzira.

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah

 

Kansala we Kubowa Parish Rubaga division Juma Lubega Kabootongo awonye ekkomera oluvanyuma lwa KCCA okwekuba endobo n’emujako emisango gy’okweyisa mu ngeri etagasa.

Kino kidiridde Kansala ono nga yeegatiddwako n’abatuuze okw’etika ebikutiya bya kasasiro bina  nebabiyiwa ku wankaaki w’ekitebe kye gombolola ya Rubaga .

Kabootongo nebane abalala 3 basimbiddwa mu kkooti ya city hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisosoka Beartrice Kainza nebegaana omusango.

Wabula oludda oluwaabi oluva mu  KCCA nga lukulembedwamu Elijah Ndamurani lugyeyo ekiwandiKo ekiraga nti omusango bagwesoonyiye.

Kati bano bayimbuddwa.