Amawulire

Kansala eyadduka nez’emyoga bamuyigga

Kansala eyadduka nez’emyoga bamuyigga

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2022

No comments

Bya Musasi Waffe

Poliisi mu disitulikiti ye Bukwo mu bwagagavu bwe Sebei, batandise omuyiggo ku kansala wegombolola ye Riwo, kigambibwa eyabula ne ssente z’emyoga obukadde 30.

Amos Bushendiki kigambibwa yebalama entuula za kanso okutuuka olwaleero, okuva lweyaweebwa ssente ezalina okuyamba aba takisi mu kibiina mwebegattira.

Samson Lubega, omuddumizi wa poliisi mu disitulikiti ye Bukwo agambye nti okunonyereza kwali kwatandika, era baamuyita ku poliisi neyeyanjula nakola sitatimenti, oluvanyuma nabula.

Kigambibwa nti ssente yazijja ku akawunta mu Centenary Bank Kapchorwa kububwe, awataali lukusa okuva mu banne.

Wabula Bushendiki asobodde okwogerako nomusasai waffe, neyegaana ebyokubulankanya ssente era agambye nti gyali taliira ku nsiko.