Amawulire

Kanisa ya Kibuuka Nayo Yakulamaganga

Ivan Ssenabulya

June 4th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Akulira ekiwayi kya kereziya katulika eyobuvanjuba mu Uganda, eya Evangelical Orthodox Catholic Church, Rev. Bishop Tom Kiiza Ssebayirwa okuva e Fortal Portal alangiridde ekkanisa ya Mamre Prayer Center e Namugongo ngekifo ekyolamagiramu buli mwaka eri abagoberezi benzikiriza eno.

Abakiririza mu kereziya eno bakunganidde ku kanisa eno nebetaba mu kusaba okwatagekeddwa Father Jacinto Kibuuka okusaba nga bajjukira abajulizi ba Uganda.

Mu bubaka bwe bwabadde abauliira Bishop Kiiza akubiriza abakiriza okunywerera mu Christo, nga batwala ekyokulabirako kyabajulizi ba Uganda nabalala abewaayo kulwa Katonda.

Kati omumyuka wa Kiiza, Father Jacinto Kibuuka nga yakulira Mamre Prayer Center anyonyodde nti, abajulizi abasooka ye Chrisito nabayigirizwa be abayita mu kaseera akazibu naye nebabunyisa enjiri.

Ono era ayogedde ku bajulizi abe Antioch abegattira mu kkereziya eyobuvanjuba nti bonna balina okujjukirwa

Okusaba kuno kwetabaiddwamu ne Minister atalina mulimu gwa nkalakkalira, Haji Abdul Nadduli kulwa government.

Ono alabudde ku njawukana mu madiini nti tezitekeddwa kutetawo bukubagano na kulwanagana kubanga Katonda ali omu bonna gwebasinza.