Amawulire

Kamuswaga abasenze abadiddemu

Ali Mivule

May 17th, 2017

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Omukulembeze ow’ennono ow’eKkooki Kamuswaga Appollo Ssansa Kabumbuli II, ategeezezza nga bw’asonyiye abantu abesenza ku ttaka mu kitundu kyakulembera ssente ez’obusuulu n’envujjo okumala emyaka etaano.

Bino yabyogedde ku mukolo ogwamatikkira ge ag’omulundi ogw’ekkumi n’esatu (13) agaayindidde ku kitebe ky’egombolola ye Kabanda mu district ye Rakai.

Abantu okusonyiyibwa kivudde ku njala eyalumba abantu mu kooki ebbanga eriwera naagamba nti babadde basasula ensimbi za mitwalo ebiri buli mwezi.

Mu ngeri yeemu Kamuswaga akubirizza abantu b’eKooki okukola ennyo basobole okukyusa embeera zabwe eza bulijjo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *