Amawulire

Kaliisoliiso yekokodde obulya mu kitongole kyé byényonyi

Kaliisoliiso yekokodde obulya mu kitongole kyé byényonyi

Ivan Ssenabulya

January 25th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Kaliisoliiso wa Gavumenti Betty Kamya yekokodde omuze gw’ebikorwa eby’obuli bw’enguzi mu kitongole ekivunanyizibwa ku ntambula y’omubbanga ki Uganda Civil Aviation Authority.

Sabiiti eno ekitongole kino kiriko abakozi baakyo abakwatiddwa ku katambi nga bajja ku basaabaze n’abenganda z’abasaabala ensimbi mu ngeri emenya amateeka.

Okuva kino lwekyabaddewo, abakozi abamu mu kitongole ekyo bagobeddwa ku mulimu ate ng’abalala bali mukunoonyerezebwako.

Kati ng’ayogerako eri ab’amawulire, Kaliisoliiso Betty Kamya ategeezezza nga guno sigwe mulundi ogusoose nga bakola okunoonyereza ku bakungu mu kitongole ekyo nga mu myaka 5 egiyise, emisango 21 gyebasobodde okuwulirwa nga negimu giri eyo mu offiisi ekola ku gw’okugula ebintu by’ekitongole.

Ono era asiimye banna Uganda olw’okuwulira omulanga gwa Ofiisi abaakutte akatambi akalabisizza bano nga bwebazze babasaba okweyunga ku lutalo olwokulwanyisa enguzi.