Amawulire

Kaliisoliiso wa Gavt yegaanye obuwmbi bw’ensimbi 10.6

Kaliisoliiso wa Gavt yegaanye obuwmbi bw’ensimbi 10.6

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Eyaliko Minisita avunanyizibwa ku bye ttaka yegaanye okuba ne kyamanyi ku buwumbi bwensimbi 10 nobukadde 600 ezafulumira mu mbalirira yenyongereza.

Bwalabiseeko eri akakiiko ka plamenti akavunanyizbwa ku bitongole bya gavt, Kamya agambye nti ye yali agoberera biragiro bya mukulembeze era yakoma kukuwandiika bbaluwa eri minisitule eye byensimbi nga asaba ensimbi ezo ziweebwe akakiiko ke bye ttaka aka Uganda Land Commission (ULC).

Okusinzira ku alippota ya ssababalirizi we bitabo bya gavt eyomwaka 2020/21, Kamya anenyezebwa okulagira okufulumya ensimbi zino nga tafunye lukusa okuva mu kakiiko ka ULC.

Ensimbi zino zakozesebwa okuliyirira abatuntu abasengulwa kuttaka lwe Lusanjja ne mu Ndebba ku kanisa eyamenyebwa nábantu 4 abaali batwala akakiiko ke byettaka mu kkooti ne balagirwa okuliyirirwa.