Amawulire

Kakwenza mutaka e Germany

Kakwenza mutaka e Germany

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2022

No comments

Bya Musasi Waffe

Omuwandiisi w’ebitabo Kakwenza Rukirabashaija, eyadduka mu gwanga wiiki 2 eziyise atuuse mu gwanga lya Germany.

Bwabadde ayogerako nabumukutu gwa AFP New Agency, munnamateeka we Eron Kiiza akakasizza nti Kakwenza atuuse mu gwanga lino amakya ga leero.

Agambye nti gyebali bawewuse ku mugugu, era mukakafu nti omuntu we agenda kujira abeera mu gwanga lino bulungi.

Ono yadduka oluvanyuma lwa kooti okuyimbula ku kakalu, nga yabekubako enfunda eziwera bamuwe passporta ye atambule okufuna obujanjabi naye nebagaana.

Kiiza anyonyodde nti Kakwenza yatambula nagenda e Rwanda nagenda munsi eyokusatu, abekitongole ekirera abanoonyi bobubudamu aba UNHCR, gyebamujje okumutwala e Germany.