Amawulire

Kakwenza bamuyisizaako ekibaluwa ki bakuntumye

Kakwenza bamuyisizaako ekibaluwa ki bakuntumye

Ivan Ssenabulya

March 23rd, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah

Omulamuzi wa kooti ya Buganda Road ayisizza ekiwandiiko ekikwata, omuwandiisi Kakwenza Rukirabashaija oluvanyuma lwokulemrerewa okweyanjula mu kooti olwaleero.

Omulamuzi Dr. Douglas Singiza era ayise nabamweyimirira okulabikako eri kooti nga 11 April 2022 okunyonyola amayitire ge.

Bano kinajjukirwa nti beyama okusasaula ssente ezitaali zabuliwo, obukadde 10.

Wabula ono kyategerekeka nti yaddukka mu gwanga, okwolekera Bugirimaani gyali mu buwanganguse.Kakwenza avunanibwa okuvuma n’okunyiiza omukulembeze wegwanga Yoweri Kaguta Museveni ne mutabani we, omuddumizi wamagye agokuttaka Lt. Gen Muhoozi Kainerugaba.

Kakweza yali yakwatibwa nga 29 Decemba okuva mu maka ge e Kisaasi mu divizoni ye Nakawa nga kigambibwa yakozesa omukutu gwe ogwa twitter okwogera ebikaawa, era mu kyo yakozesa bubi ebyuma bi kalimagezi.

Oludda oluwaabi lugamba nti emisango yagizza wakati wa 24 ne 28 Decemba 2021.