Amawulire

Kakuyege mu Jinja East atandise leero.

Ivan Ssenabulya

February 19th, 2018

No comments

Bya Ben Jumbe.

E Jinja abavuganya ku kifo ky’omubaka wa Jinja East olwaleero lwebatandise okunonya akalulu ,mukaweefube  wokujuza  ekifo ky’omubaka ow’ekitudu  kino.

Abamu kubali mu lwokano luno kuliko munna- NRM  Nathan Igeme Nabeta, owa FDC Paul Mwiru, Faizal Mayemba ne Francis Wakabi Nga bano bagidde kubwanamunigina.

Twayogedeko n’akulira akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama , n’agaamba nti abagenda okuvuganya bagwana beewale okukozesa olulimi olukuma omuliro mu bantu, nga kwogase n’okugoberera amateeka agalambikiddwa.

Kinajukirwa nti kino ekifo kyasigala nga kikalu, oluvanyuma lwa kooti okugobayo Nethana Nabeeta nga ensona zaakubba kalulu..