Amawulire

Kaihura yewozezzaako ku bya muka Mbabazi

Ali Mivule

April 2nd, 2014

No comments

Kaihura at parliament

Kyadaaki aduumira poliisi Gen Kale Kihura avuddemu omwaasi ku bigambo ebyogerwa muka ssabaminisita Jacqueline Mbabazi.

Mbabazi nga y’akulira akabondo k’abakyala ba NRM agamba nti gen Kaihura akozesezza nnyo ofiisi ye okutulugunya abavuganya ng’abassaako agasanga n’okukozesa eryaanyi ku beekalakaasa

Wabula ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’okwerinda, Kaihura agambye nti yye aba akola mulimu gwe era nga talina lutalo na Muntu yenna

Kaihura era agambye nti tafunangako kwemulugunya kwa muka Mbabazi mu butongole kale nga kiba kizibu okumuyamba n’okunonyereza ku bigambo bye

Ku ky’abavubuka ba NRM abakwatibwa, Kaihura agambye nti abavubuka bano baali baleese akavuyo naye nga tebabawata lwakuwagira Mbabazi