Amawulire

Kagina bamulumiriza kyekubiira mu kugaba emirimu

Kagina bamulumiriza kyekubiira mu kugaba emirimu

Ivan Ssenabulya

June 27th, 2019

No comments

Bya Dmalie Mukhaye

Akakiiko ka palamenti akalondoola emirimu mu bitongole bya gavumenti aka COSASE, kalagidde abakulu mu kitongole kye nguudo, ekya Uganda National Road Authority okuleeta CV, eraga ebikwata ku bakaulu mu kitongole kino, abali mu bifo ebyoku ntikko.

Omumyuka wa ssnetebbe wakakiiko kano Ibrahim Kasozi, agambye nti kino kivudde ku kwemulugunya okuliwo, nti emirmu tegigabibwa amu bwenkanya, wabula giweebwa ba nganda nabemikwano, nga nabamu tebalina bumanyizvu na bukugu.

Agambye nti kyandiba nga kyekiremesa ne polojekiti zokukola enguudo, nezirwawo, okutandika nokukolanga gadibe ngalye.

Omubaka Kasozi ategezezza nga bwegenda aokwkebejja ebiwandiiko bino, okumanya obanda ddala abali mu mirmu egyo bebantu abatuufu.

Abekitongole kino balabiseeko eri akakiiko, nga babadde bakulembeddwamu ssenkulu waabwe Allan Kagina, okunyonyola lwakai olitindo olupya olwe Jinja lwazeemu enyafa mu bwanagu ddala nga lwakazimbibwa.