Amawulire
Kadaga ne Oulanya sibakukiika mu lusirika lwa NRM
Bya Moses Ndaye,
Sipiika wa palamenti nómumyukawe tebayitiddwa okwetaba mu tabamiruka w;ekibiina kya NRM agenda okubaawo e Kyankwanzi.
Okusinzira ku director akulira ebyokukunga mu kibiina kya NRM, Mathis Kasamba, ekibiina kisazeewo ababaka bonna abali mu palamenti obutetaba mu lusirika luno
atangaziza nti olusirika lwa kwetabwamu ababaka ba palamenti abalonde 200 abagenda okukiika mu palamenti eyomulundi ogwe 11 ne bannaNRM 43 abayitawo kubwa nnamunigina.
Kasamba agambye ababaka abaliko balekedwa ebbali kubanga bali bizze nokufundikira okuyisa amabago ga mateeka agabadde teganakolwako.
Era sipiika Rebecca Kadaga nomumyukawe Oulanya nabo sibakukiika kuba balina okubaawo okukubiriza palamenti
Olusirika luno lwa kukulungula ssabiiti 2, lutandika nga April 8th