Amawulire

Kadaga Ayagala Enguudo Z’abobugaali ne Pikipiki mu Kampala

Ivan Ssenabulya

July 14th, 2017

No comments

KAMPALA

Omukubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu, Rebecca Kadaga asabye abekitongole kya Kampala Capital City Authority ekitwala ekibuga, okubangawo enguudo ezenjawulo eza pikipiki nabobugaali nekigendererwa okukendeeza ku mujjuzo.

Omulanga gwa Kadaga kijidde mu kadde, oluvanyuma lwokutongoza aplipoota ekwata ku nkozesa yenguudo eya Road User’s Satisfaction Survey eyomwaka gwa 2016.

Alipoota eraze nti banna-Uganda 55% ssi basanyufu nakamu ku mbeera yenguudo mu gwanga.

Okunonyereza kwakoleddwa aba Uganda Road Fund nga kulaze nti endowooza ekyliwo nti obubenje mu gwanga obutakoma buva ku nguudo embi.

Akulira Uganda Road Fund, Engineer Michael Odongo ayogedde ku nguudo enfunda, eziwomogoseemu ebinnya okukira ebikka ettanda, entambula yamazzi embi, enfuufu nebiralala nga byebimu ku byebazudde.

Kati Kadaga oluwulidde bino, neyenyamira nti ministry yebyenguudo efuna omusimbi mungi ddala naye kyandibanga ebalina ntekateeka nnungi.

Mungeri yeemu, gavumenti okuyita mu Ministry yebyensimbi efulumizza obuwumbi bwakuno 417 okukola ku nguudo eziri mu mbeera embi mu district ezitali zimus.

Kati enkata eno ejiddwa okuva mu Ministry yebyensimbi okudda eri entekateeka eya Uganda Road Fund nga district 112 okwetoola egwnaga zezigenda okuganyulwa.

Bwabadde ayogerako eri obukiiko bwa palamenti obwenjawulo, obukwatibwako mu kukola enguudo wano mu Kampala, minister webyensimbi Matia Kasaija ategezezza nti mu kusooka baali besibye mu kukola enguudo mu kifo kyokuddabiriza nezibaddewo kyagambye nti kikyamu.

Omwezi oguwedde, omukulembeze we gwanga abadde yakajja atongoze ebyuma ebyalatebwa gavumenti okola enguudo muzi gavuenti ezebitundu.

Ebyuma bino bibalirirwamu obukadde bwa Dollar 155 nga byagulibwa ku bbanja.