Amawulire

Kadaga atenderezza abakyala

Kadaga atenderezza abakyala

Ivan Ssenabulya

March 9th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omumyuka wa Ssabaminista wegwanga, avunanyizbwa ku nsonga zomukago gwa East African Community, Rebecca Kadaga atenderezza abakyala mu Uganda, agamba nti batambudde olugendo okuva emabega okutuuka ku mwenkano nakalembekereza akaliwo.

Bino yabitadde mu bubaka bwe eri abakyala, ensi bweyabadde ejaguza olunnaku lwabakyala munsi yonna.

Kadaga ajjukirwa ennyo ku kifo kya sipiika wa palamenti, agambye nti waliwo enjawulo omwenkano gulabibwa mu masomero nemu byenjigiriza, mu byobusubuzi mu butale, mu bibuga neyo mu byalo abantu gyebawangaliira.

Kadaga yomu ku bakazi abatunulira abagundiivu era abalwanye ku bakyala banaabwe, nokubaberera ekyokulabirako.