Amawulire

Kadaga asabye wabeewo okulungamizibwa kunkozesa yémitimbagano

Kadaga asabye wabeewo okulungamizibwa kunkozesa yémitimbagano

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omumyuka wa Ssaabaminisita asooka era Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omukago gwa East Africa, Rebecca Alitwala Kadaga asaba wabeewo okulungamya enkozesa y’emikutu gy’empuliziganya mu bifo we bakolera ng’agamba nti ekosa eremesa abakozi okukola emirmu obulungi.

Bwabadde ayogerera mu lukungaana lw’abakozi olusookedde ddala mu ggwanga olutudde mu Kampala, Kadaga, agambye nti abakozi bangi naddala mu mirimu gy’abasoma bamala essaawa mpitirivu ku mikutu gya yintaneeti mu kifo ky’okufaayo ku mirimu gyabwe, nagamba nti kika nakyo kika kya nguzi kuba basigala basagulwa ate nga tebakoze.

Kadaga ategezeeza nti okusinziira ku alipoota y’ekitongole ky’ensi yonna eky’abakozi eya 2022, yalaga nti bannauganda mu wiiki bakola essaawa 33 mu kifo kye sssaawa 48 ezagerekebwa ku mutendera gwe nsi yonna.

Alaze n’obwennyamivu ku emize gy’obugayaavu egyeyongera mu bakozi ba gavumenti abaleka amakooti gaabwe mu ntebe ne badduka ku mirimu noolowooza nti webali.

Kadaga agamba nti enkola embi ez’abakozi mu Uganda singa tezikeberebwa zijja kusiiga ekifaananyi ekibi mu kwegatta kwa East Africa n’ategeeza nti ekiseera kijja kutuuka nga kizibu eggwanga lyonna erya East Africa okukozesa Munnayuganda olw’obugayaavu bwabwe ku mirimu.