Amawulire
Kadaga alagidde gavt etangaze kubya Kafyu
Omukubiriza wólukiiko lweggwanga olukulu Rebecca Kadaga asabye gavumenti etangaze eggwanga kunsonga za kafyu.
Kino kidiridde omubaka wa Kilak County Gilbert Oulanya okwemulugunya ku basirikale abakwasisa kakfyu okunyaga bannauganda ensimbi mu lukujukujju mbu babakutte kakyu.
Oulanya abuulidde ababaka nti abantu bangi bukya gavt yateekawo kakfyu ababbiddwa abakuuma ddembe.
Nampala wa gavt Ruth Nankabirwa abadde asabye palamenti okulinda alipoota kunsonga eno wabula ababaka ne balemereko nti ensonga eno erina okutunulwamu mu bwangu kuba bangi abanyigirizibwa.
Sipiika Kadaga wano wasabidde gavt eveeyo bunambiro etangaze kunsonga eno ku lwokubiri lwa ssabiiti ejja.