Amawulire

Kadaga akubiriza bannauganda okwetanira okuyiga Oluswayiri

Kadaga akubiriza bannauganda okwetanira okuyiga Oluswayiri

Ivan Ssenabulya

July 7th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Amyuka ssaabaminisita asooka era avunanyizibwa ku nsonga za East Africa Rebecca Kadaga asabye bannayuganda bonna okwettanira okuyiga olulimi oluswayiri.

Okwogera bino nga waakayita olunaku lumu lwokka nga olusririka lwamawanga ga East Afroica kyelujje lusalawo olulimi oluswayiri lufuulibwe olulimu olutongole mu mawanga ga East Africa.

Kati nga ayogerako eri bannamawulire olwaleero, Kadaga ategezezza nga okukozesa oluswayiri bwekijja okuyamba okuleetawo obwegassi mu mawanga naddala okuyamba bannayuganda mu byobusuubuzi.

Agamba gavumenti yakwataganye dda ne Makerer University okusomesa ba minisita, ababka ba palamenti nebannamawulire.

Kadaga agamba nenyonyi yeggwanga yalagiddwa okutandika okukozesa oluswayiri noluzungu.