Amawulire

Kabuleta ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 2

Kabuleta ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 2

Ivan Ssenabulya

December 14th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Senkagale w’ekibiina ki National Economic Empowerment Dialogue Joseph Kabuleeta, ayimbuddwa kakalu Kkooti yé Nakawa enkya ya leero.

Ono asoose kusasula akakalu ka kkooti ka bukadde 2 obw’ensimbi ez’obuliwo n‘abamweyimirdde nebateeka emikono ku mpapula za bukadde 20 ezitali za buliwo.

Omulamuzi ali mu mitambo gy’omusango guno Ritah Neumbe Kidasa akizudde nga abantu abazze okweyimilira Kabuleeta babadde bantobo ate nga n’omusango okunoonyereza kukyagenda mu maaso kwekusalwo ono okumuyimbula.

Ono era omusango ogwongeddeyo okutuusa omwaka ogujja era nagaanibwa okubaako kyayogera ku musango guno mu lujudde kuba gukyaali mu maaso ga Kkooti.

Zaali 30th/November omwaka guno, Kabuleeta naggulwako omusango gw’okutumbula obusosoze mu mawanga era bwatyo nasindikibwa ku meere e Luzira okumalira ddala sabiiti 2 eziweddeko leero.

Prossy Ayebare omulala bwebavunaanibwa ne Kabuleeta eyali yayitibwa okweyanjula eri kkooti leero, talabiseeko.