Amawulire

Kabuleta asabye Poliisi ku bya Bannauganda abattibwa

Kabuleta asabye Poliisi ku bya Bannauganda abattibwa

Ivan Ssenabulya

May 15th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Senkagale w’ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya National Economic Empowerment Dialogue-NEED, Joseph Kabuleta avumiridde effujjo ly’emmundu erigenda mu maaso mu ggwanga, n’asaba poliisi okukozesa obwangu bwe bumu bwe yakozesa okukwata omuserikale eyasse Omuyindi okuwa obwenkanya eri abaakosebwa mu mbeera yemu.

Ivan Wabrire, omuserikale wa poliisi eyatta Omuyindi omuwozi wensimbi ku Rajja Chambers ku luguudo lwa Parliament Avenue mu Kampala ku wiikendi yakwatiddwa e Busia mu bbanga tono ddala.

Kati ng’ayogera eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina e Rubaga, Kabuleta asabye poliisi ekozese obukodyo bwe bumu bwe yakozesa okukwata Wabwire, okunoonyereza ku butemu bwonna obuzze bukolebwa obwetteemu lyemmundu obulabiddwako mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Kabuleta ayongerako nti obwangu bwa poliisi n’okunoonyereza ku butemu obw’obukambwe bwe butyo tebulina kuba bwa bagwira bokka wabula n’abantu b’omunsi eno.