Amawulire

Kabuleta asabye palamenti obutayisa bbago lyatteeka ku nkozesa ya Kompunta

Kabuleta asabye palamenti obutayisa bbago lyatteeka ku nkozesa ya Kompunta

Ivan Ssenabulya

July 25th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Eyavuganyako ku bwapulezidenti era nga ye pulezidenti w’ekibiina ki National Economic Empowerment Dialogue (NEED), Joseph Kabuleta asabye ababaka ba Palamenti okusuula ebbago ly’etteeka erikwata kukukozesa obubi kompyuta.

Wiiki ewedde omubaka wa Kampala central Muhammed Nsereko yayanjudde ebbago ly’etteeka lino nga ayagala wabeewo okufuga enkozesa ye mikutu egyomitimbagano.

era ayagala okukyusa mu tteeka erikwata ku kukozesa obubi kompyuta okutumbula ebiragiro ebikwata ku kufuna amawulire awatali lukusa n’okukugira okugabana amawulire gonna agakwata ku mwana nga tofunye lukusa okuva eri omuzadde oba omukuumiiwe

Mu bbago lino Nsereko ayagala abantu ssekinnoomu akwata násasanya amawulire oba okusasanya eddoboozi oba videyo yómuntu omulala nga tafunye lukusa ye aweebwe engassi ya bukadde bwa sillingi 15 oba okusibwa emyaka 10.

Era ayagala abantu abasingisibwa emisango mu tteeka lino baziyizibwe okubeera mu bifo bya gavumenti okumala emyaka kkumi.

Wabula bwabadde ayogera eri bannamawulire ku ofiisi za NEED e Bugolobi, Kabuleta agambye nti etteeka lino telyareetebwa mu mutima mulungi nga lirubirira kusiba abo abavuganya gavt.