Amawulire

Kabuleta agamba nti Mao tewali kyagenda kukyusa mu Gavt ya Museveni

Kabuleta agamba nti Mao tewali kyagenda kukyusa mu Gavt ya Museveni

Ivan Ssenabulya

July 26th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Eyali yeesimbyewo ku bwapulezidenti era nga ye pulezidenti mu kibiina kya National Economic Empowerment Dialogue (NEED), Joseph Kabuleta agamba nti minisita eyaakalondebwa owóbwenkanya nensonga z’ebyamateeka tagenda kukyusa kintu kyonna mu gavumenti ya NRM eri mu buyinza.

Kino kiddiridde Pulezidenti w’ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party, Nobert Mao okussa omukono ku ndagaano y’okukolagana ne pulezidenti Museveni wiiki ewedde era mu bbanga ttono n’aweebwa ekifo kya minisita.

Okuva olwo Mao abadde awolereza endagaano eno ng’agamba nti teyeegatta ku NRM wabula yakkirizza okukolera awamu okutereeza ensonga ezagiwabako ekikuumidde Bannayuganda bangi mu kubonaabona.

Okukakasa kino Mao yagaanyi okusaba okuva mu bannakibiina okulekulira ekifo kye ng’ategeeza nti akyali pulezidenti wa DP.

Wabula Kabuleta ategeeza nti wadde Mao musajja mugezi era omukubannabyabufuzi abakugu mu ggwanga lino, agenda kulemererwa okutuukiriza ekigendererwa kye eky’okulwanirira abaavu kuba yeegasse ku lyato eryabbira edda mu buziba.