Amawulire

Kabuleeta asindikibwa mu Komera e Luzira

Kabuleeta asindikibwa mu Komera e Luzira

Ivan Ssenabulya

November 30th, 2022

No comments

Bya Ruth Andearah,

Eyali yeesimbyewo ku bwa pulezidenti eranga ye senkagale wekibiina kye byobufuzi ekya NEED-Joseph Kabuleta asimbiddwa mu kkooti ye Nakawa lwa kutumbula busosoze mu mawanga.

Kabuleta alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Ritah Neumbe Kidasa ngóno amusindise ku mmeere e Luzira.

Kabuleeta ne Munnamateekaawe Remmy Bagenda baweeredwa amagezi okusaba okweyimirirwa nga December 14th 2022 newankubadde bagezezaako okwegayirira omulamuzi ayimbulwe ku kakalu ka kkooti kuba mulwadde alina okwetegerezebwa abasawo buli lunaku.

Omulamuzi agaanye okusaba kwabwe nategeeza nti ne mu kkomera abasawo bakumusangayo bamwetegereze.

Kabuleeta ow’emyaka 50 yakwatiddwa okuva mu ofiisi z’ekibiina kye e Bugolobi ku Mmande ya wiiki eno olw’omusango gwe yazza emyezi 5 egiyise mu May 2022 ogwekuusa ku kutumbula obusosoze mu mawanga.

Oludda oluwaabi olukulembeddwamu Doreen Elima lugamba nti okuyita mu katambi ke yateeka ku mukutu gwe ogwa you tube, Kabuleeta yayogera ebigambo ebiyinza okuvaako obutali butebenkevu obulabe , nokulumya abanyarwada , abahima na Banyankole.

Kabuleeta avunaanibwa wamu ne Prossy Nayebare atabaddewo mu kkooti era ayisibwako ekibbaluwa kibakuntumye aleetebwe mu kkooti mu lutuula oludako.