Amawulire

Kabaka yenyumiriza mu nkulakulana etuukiddwako mu Bwakabakabwe

Kabaka yenyumiriza mu nkulakulana etuukiddwako mu Bwakabakabwe

Ivan Ssenabulya

July 31st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebe 11, yeenyumiriza mu nkulaakulana y’embeera z’abantu n’ebyenfuna ebitukiddwako mu bwakabakabwe.

Bino abyogeredde mu Lubiri e Mengo bwabadde ajjaguza okuweza emyaka 30 ngatudde ku Nnamulondo alamula obuganda.

Kabaka agamba nti bukya obwakabaka buzzibwawo ebintu bingi ebibadde bigenda mu maaso ebisobozesezza abantu be okubeera mu mbeera ennungi.

Ayogedde ku bitukibwako mu by’obulamu, ebyenjigiriza, eby’obulimi n’ebyenfuna n’alaga nti kino kisobose olw’omwoyo gw’okubeera awamu mu Baganda n’okukkiriza ekirowoozo kya Federo.

Kabaka era alabudde aBaganda okuba obulindaala kuba waliwo bangi abatagala bwakabaka.

Mungeri y’emu Ssaabasajja alabudde abavubuka abanoonya emirimu ebweru w’eggwanga okwegendereza ennyo kubanga mangi ku kkampuni agabatwala tegabagaliza era tebafaayo ku bibatukako nga bamaze okufuluma eggwanga lino.

Bwatyo akubirizza abavubuka obutava mu byalo byabwe wadde okutunda ettaka lya bajjajjaabwe okusobola okunoonya emirimu mu bibuga n’ebweru w’eggwanga