Amawulire

Kabaka ayanirizza Asantehene owe Ghana

Kabaka ayanirizza Asantehene owe Ghana

Ivan Ssenabulya

July 30th, 2018

No comments

Bya Ssebuliba samuel.

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 ayanirizza mubutongole omugenyi we omukulembeze Asantahene, mu lubiri wano e Mengo

Mu nsisinkano eno Katikiro wa Buganda alombojjedde abagenyi ebyafaayo bya Buganda okuviira dala kukaba kintu, okutuusa leero ku mulembe omutebi.

Ono ategeezeza Asantahene nti Ssabasajja yali wankizo nyo okulaba nga uganda egibwa mimikono gyabasibira mubbwa mulutalo olwa 1986, kale nga tekyewunyisa lwaki mu mwaka 1993 Kabaka wa Buganda mu kaseera ako eyali Ssabataka yatuuzibwa ku Namulondo kakano gy’emyaka 25.

Ono olunaku olwenkya wakubaawo ayote buliro.

Bano kabaka bamuletedde ebirabo ntonko omubaddde engoma , emidaali, akatebe okutuulibwa nebirara.

Ate ku ludda lw’ebyokwerinda,Police etutegeezeza  nga bwemaze okwetekateeka okulaba nga omukolo gwonna gutambula bulungi

Aduumira police mu kampala nemiriraano Moses Kafeero  agambye nti bamaze okuyiwa basajja baabwe abali mu byambalo nabatali,  nga byonna bikoleddwa okulaba nga omukolo guno gubeera gwamirembe.