Amawulire

Kabaka asabye Gavt okwongera bannasayansi ensimbi abanonyereza ku ddagala lya Covid

Kabaka asabye Gavt okwongera bannasayansi ensimbi abanonyereza ku ddagala lya Covid

Ivan Ssenabulya

July 31st, 2021

No comments

Bya prossy Kisakye

Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 asabye Gavumenti eya wakati okuteeka ensimbi mu bannasayansi abali mu kunonyereza ku ddagala eriyinza okuvumula ekirwadde kya covid-19.

Bino abyogeredde ku mukolo ogwókujaguza amatikirage agomulundi 28 mu lubiri lwe Nkoni mu ssaza lye Buddu

Omukolo gukoleddwa mungeri yakinasayansi abantu batono okuva mu gavumenti eyawakati ne ya bbeene abagwetabyeko olwokwetangira ekirwadde kimumiima mawuggwe ekya covid 19.

Mu betabye ku mukolo guliko eyali amyuka omukulembeze weggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, akulira oludda oluvuganya gavt mu palamenti, Mathius Mpuuga, bannaddiini, abolugyo olulangira nábalala

Emikolo gitambulidde kumulamwa ogugamba nti obuwangwa n’ennono y’entabiro y’enkulaakulana.

Kabaka agambye nti embeera ye kirwadde etataganyiza amawanga okuvaawo kijja kwetaagisa okuteeka ensimbi ezimala mu kunonyereza okwokuvumbula eddagala erinayamba okukijanjaba.

Mungeri yemu Omutanda asaasidde famile zábantu abafiiridwako ababwe olwekirwadde kino kko naabo abali kundiri

Uganda yakafiirwa abantu abasoba mu 2000 olwekirwadde kya ssenyiga omukambwe songa abasoba mu mitwalo 9 bebakaloza ku bukambwe bwakyo.

Era yebaziza buli alina kyakoze okuteeka Buganda kuntiko