Amawulire

Kabaka asabye Gavt okutumbula ebyóbulimi

Kabaka asabye Gavt okutumbula ebyóbulimi

Ivan Ssenabulya

August 21st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 asabye gavumenti okutwala ebyobulimi ng’empagi ennywevu eri enkulaakulana y’eggwanga.

Bino abyogedde nkya ya leero bw’abadde aggulawo Olukiiko lwa Buganda olw’omulundi ogwa 31 e Bulange Mengo.

Kabaka ayagala gavumenti efuule ebyobulimi essomo eryóbuwaze eri abayizi okutuukira ddala ku ddaala lya siniya okusobozesa abayizi okumanya okwetaagisa ku byóbulimi.

Ono era asabye abalimi okugenda mu maaso n’okwenyigira mu bulimi wadde nga mu kiseera kino ebbeeyi yé birime ekyukakyuka ku katale.

Mungeri yeemu Kabaka mweraliikirivu olw’okunyaga ettaka ku banaku okukyagenda mu maaso ekikosezza ennyo munnansi omwavu nga nábamu bafudde abalala basigadde balumizibwa nga tebalina webegeka luba okuleka