Amawulire

Kabaka asabye Gavt egyewo emisolo ku bintu ebikozesebwa mu bulamu bwa bulijjo

Kabaka asabye Gavt egyewo emisolo ku bintu ebikozesebwa mu bulamu bwa bulijjo

Ivan Ssenabulya

April 14th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssabasajja kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi 11, asabye gavt okugyawo omusolo ku bintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo mu bannauganda basobole okumyumirwa amazukira ga mukma waffe Yesu.

Bino biri mu bbaluwaye obuli obubaka bwa pasika efulumizibwa enkya ya leero.

Kabaka agambye nti amazulira ganirizibwa ne ssanyu kuba yesu kristu yaguminkiriza obulumi bwonna asobole okununula omwana womuntu mu kubonaboona wabula bannauganda si bakweyagalira mu mazukira gomulundi guno olwembeera enyigiriza gyebayitamu mu kaseera kano.

Ono agambye nti emisolo emingi egyatekebwa ku bintu gyavaako ebeeyi okwekanama, ebbula lye mirimu, n’obutali butebenkevu ebiviriddeko bannauganda okunyigirizibwa.

Mungeri yemu Kabaka asabye ababaka ba palamenti okweyambisa amazukira gano okulowooza ku byebasuubiza abalonzi babwe nokukola kunsonga ezibaluma.