Amawulire

Kabaka agenda kukwasibwa ekirabo ky’amattikira

Kabaka agenda kukwasibwa ekirabo ky’amattikira

Ivan Ssenabulya

July 27th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Olwaleero Ssabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri obuganda ku mukolo ngakwasibwa ekizimbe   ‘Kabaka Mulondo’ ngekirabo kyamatikiira  ge agemyaka 25 .

Dr. Twaha Kaawaase omyuka owokubiri owa Katikkiro wa Buganda  nga mukiseera kyekimu ye Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka amatikkira ga Kabaka ag’omulundi  guno  atukakassizza ku ntekateeka zo’lwaleero.

olwaleero erawagenda kubaawo okusabira Kabaka n’obuganda okuva mu mizikiti gyonna mu Buganda, mu Badiventi olwenkya namasinzizo amalala ku Sunday.

Mungeri yeemu olwenkya Katikkiro Mayiga agenda kuyingira Buttikiro, oluvanyuma lwemyaka 52 nga tewali Katikkiro wa Buganda asula mu maka amatongole.

Ate mu nteekanteeka Namutayiika mu bwakabaka bwa Buganda bakunywezza enkola ya Sseruganda mu biibina byabavubbuuka ebyenjawulo okusobol okubakulakulanya nokuzza Buganda ku ntiiko.

Bino byasanguzidwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, nga agamba kino kigenderedwamu kulaga abavubuuka betaniira okusiga ensimbi.