Amawulire

Kabafunzaki bamusibye emyaka 3

Kabafunzaki bamusibye emyaka 3

Ivan Ssenabulya

October 8th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Eyali minisita wabakozi Herbert Kabafunzaki emisango gyokulya ekyoja mumiro ekyobukade 5 gimusinze.

Ekibonerezo, kooti emusalidde ekibonerezo kyakusasula engasi ya bukadde 10 oa okusibwa emyaka 3 mu nkomyo.

Kooti enkulu ewozesa emisango gyenguzi era ekalize Kabafunzaki, obutaddamu kuwereza mu gavumenti wonna okumala emyaka 10.

Wabula ono kooti emusingisizza emisango nebamusalira, mu butaliiwo nga kitegezeddwa nti okuva lwebamuyimbula okuwoza ngava bweru wa kkomera teyadda.

Kinajjukirwa nti Kabafunzaki baamukwata lubona ku Serena Hotel mu Kampala, nga 8 April mu mwaka gwa 2017 ngafuna enguzi eyobukadde 5 okuva ku Muhammad Hamid.

Oludda oluwaabi lugamba nti Kabafunzaki, yateeka Hamid ku nninga, okumuwa ekyoja mumiro okumutaasa ku musango gwomuwala omukozi we, agambibwa nti yali yamukabasanya.