Amawulire

Joyce Bagala alangiridwa ngómubaka omukyala omutuufu owa Mityana

Joyce Bagala alangiridwa ngómubaka omukyala omutuufu owa Mityana

Ivan Ssenabulya

June 24th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kooti ejulirwamu enywezezza obuwanguzi bwamunna NUP Joyce Bagala ku kifo kyomubaka omukyala owa disitulikiti ye Mityana.

Abalamuzi 3 nga bakulembeddwamu Geoffrey Kiryabwire bamenyewo ennamula eyaweebwa kooti enkulu e Mubende, eyali esazizaamu okulondebwa kwa Bagala olwamateeka gebyokulonda agamenyebwa.

Minisita webyettaka Judith Nabakooba bwebavuganya mu kalulu akaliwo omwaka oguwedde, yeyaddukira mu kooti okuwkanya okulondebwa kwa Bagala ngagamba nti waaliwo okumenya amateeka gebyokulonda, okugulirira abalonzi n’okutisatiisa abalonzi nga kikolebwa amagye.

Abalamuzi mu kooti ejjulirwamu bategezezza ngobujulizi bwa Nabakooba bwebutamatizza okusazaamu ebyava mu kulonda.

Kooti ejulirwamu eragidde enjuuyi ezisigadde, okuliwa ebisale ebisasanyiziddwa mu musango guno.