Amawulire

Joshua Abaho naye asiniddwa Luzira ku nsonga z’amabaati

Joshua Abaho naye asiniddwa Luzira ku nsonga z’amabaati

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah. Omu ku bawandiisi abakulu mu Minisitule y’e Karamoja , Joshua Abaho avunaaniddwa mu Kooti elwanyisa obukenuzi oluvanyuma nasindikibwa ku alimanda mu komera e Luzira okutuusa nga 2/05/2023.

Emisango ono egimusomeddwa kwekuli ogw’obuli bw’enguzi, okwekobaana ne Minister Kitutu okubuzaawo amabaati 9000 ekitundu ku ago agaali ag’abantu b’e Karamoja.

Abaho enkya ya leero yetutte mu Kooti ng’okwanukula ebibaluwa ebizze bimusindikirwa emirundi ebiri egiyise wabula nga talinnyayo.

Kigambibwa nti Abaho Joshua wakati wa omweezi gw’omukaaga 2022 n’ogwa January 2023  ku kifo awaterekerwa amabaati e Namanve, yakozesa obuyinza bwe nabaako amabaati  ku ago 14,500 agatali ga langi aga geegi 28 agaali aga gavumenti gyeyabulankanya n’ekigendererwa eky’okugabuzaawo.

Abaho era avunaanibwa okwekobaana ne Minister w’ensonga z’e Karamoja era omubaka Omukayaala owa  Manafa District, Kitutu Mary Goretti okunyagako abantu b’e Karamoja amabaati gabwe 9000 agaali gabawereddwa gavumenti.

Wabula Abaho emisango gyonna agyegaanyi mu maaso g’omulamuzi wa Court Ento Joan Aciro.