Amawulire

Joseph Kabira tagenda kuddamu kwesimbawo

Joseph Kabira tagenda kuddamu kwesimbawo

Ivan Ssenabulya

August 8th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omukulembeze we gwanga lya Democratic Republic ya Congo Joseph Kabila ssi wakuddamu kwesimbawo ku kisanja ekyokusatu, okusinziira ku mawulire omwogezi we gafulumizza.

Kati ono awanze eddusu ku minister we owensonga zomunda amu gwanga, Emmanuel Ramazani Shadary okuvuganya.

Ekisanja kya Kabila ekyokubiri, kyagwako mu mwaka gwa 2016, wabula okulonda nekutabaawo ppaka kati olwe bbulya lyensimbi.

Era wabaddewo oluvuvuumo, nti tewanabaawo kukaanya oba ebyobufuzi abiwummule.

Abantu 8 bebakalaga obwagazi okubuganya ku bukulembeze bwe gwanga.

Kigambibwa nti embiranye egenda kubeera wakati wa Shadary neyali omumyuka womukulembeze we gwanga Jean Pierre Bemba, eyakomyewo mu gwanga bwebamujeeko emisango gye ntalo.