Amawulire

Jonathan McKinstry bamuwumuzza omwezi mulamba

Jonathan McKinstry bamuwumuzza omwezi mulamba

Ivan Ssenabulya

March 3rd, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwomupiira mu gwanga, ekya FUFA bawumuzza omutendesi wa team ye gwanga the Cranes, Jonathan Mckinsyry okumala omwezi mulamba oluvanyuma lwobutakola bulungi mu mpaka zokusunsula abanazannya AFCON.

Mu kiwandiiko ekivudde mu FUFA, bagamnbye nti McKinstry yalina emipiira ebiri gyeyali atkeddwa ouwangula, kyatakola.

Bino webijidde nga Uganda Cranes eri mu ketao okuzannya Malawi ne Burkina-Faso nga 24 ne 29 March.

Kinajjukirwa nti mu AFCON Qualifiers, Uganda yasanga olusozi gambalagala okuwangula South Sudan 1-0 atenga mu mupiira gwegugumu pogwokudingana Uganda yakubwa omwayo 1-0.

Kati abatndesi Abdallah Mubiru, Livingstone Mbabazi ne Fred Kajoba bebalondeddwa okubeera mu mitambo gya team okumala omwezi mulamba.