Amawulire
Jjajja asuulidde poliisi omuzzukulu.
Bya Shamim Nateebwa
Poliisi y’e Matugga etubidde n’omwana jjajjaawe gwe yasudde ng’agamba nti akooye muzzukulu we okumubbiranga ebintu.
Joweria Nabbanja ye yaleese Abdul Hakim Mukiibi ow’emyaka 10 ku poliisi.
Nabbanja alumirizza nti okuva lwe baamusuulira Mukiibi y’amukuzizza kuba bamumusuulira muwere ate nga mutabani we yafa ng’omukyala ali lubuto.
Entabwe okutabuka evudde ku kumubbira emitwalo 6 kyokka n’azeegaana