Amawulire

Jim Muhwezi akakasiddwa ngómubaka wa Rujumbura county mu palamenti

Jim Muhwezi akakasiddwa ngómubaka wa Rujumbura county mu palamenti

Ivan Ssenabulya

May 24th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah, 

Kkooti ejjulirwamu ekakasiza okulondebwa kwa minisita owe Jim Muhwezi,ngómubaka wa Rujumbura County mu palamenti.

Munnakibiina kya FDC Fred Turyamuhweza.

Yeyawalawala Muhwezi mu kkooti.

Muhwezi yawangula Turyamuhweza nóbululu 23,990 ate ye nafuna obululu 20,556

Wabula Turyamuhweza teyakkiriza byava mu kulonda bweyategeeza nti okulonda mwalimu okubba akalulu, okugulira abalonzi, nókutiisatiisa abalonzi.

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Kabale Phillip Odoki, yeyasooka okugoba omusango guno bweyategeeza nti Turyamuhweza yalemerwa okuleeta obujjulizi obumala kunsonga ye ne mu kkooti ejjulirwamu abalamuzi basaza kyekimu nga munabwe