Amawulire

Japan etadde sente mu pulogulamu yókuyamba abavubuka nábakyala

Japan etadde sente mu pulogulamu yókuyamba abavubuka nábakyala

Ivan Ssenabulya

November 12th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Ekitongole kya Child fund Uganda kifunye obukadde bwa shs 560 okuva mu Coca-cola Foundation okussa mu nkola pulojekiti women and Youth Economic Empowerment egendereddwamu okutumbula abakyala n’abavubuka abalina obukugu obusaanira.

Enteekateeka eno esuubirwa okutumbula embeera z’ebyenfuna n’obulamu bw’amaka gaabwe n’ebitundu byabwe songa ate era essira eritadde ku bawala abatali mu masomero olwembeera yobwavu eri mu maka gyebava.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire dayirekita wa Child Fund mu Uganda Moses Otai asanyukidde obuwagizi buno obutuuse mu budde okuva mu mikwano gyabwe era nategeeza nti bwakweyambisibwa bulungi okukyusa embeera ya bavubuka ana bakyala mu ggwanga abali obubi