Amawulire

Janet Museveni abasabye abamatendekro okukyusa munsomesa

Janet Museveni abasabye abamatendekro okukyusa munsomesa

Ivan Ssenabulya

November 7th, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Minister w’eby’enjigiriza n’emizannyo Janat Kataaha Museveni asabye abakulembeze mu zi University okukyusa mu nsomesa y’ennaku zino basobole okutambulira awamu n’enkyukakyuka ya technologiya ayongedde okumaamira eggwanga.

Okusinziira ku mukyaala Museveni, waliw obwetaavu bw’okukola enteekateeka ezetegekera enkyuka kyuka y’emilimu egiri ku katale.

Agamba nti olw’enkyuka kyuka elabiseewo mu nkozesa ya technology, n’ebyetaago by’abo abagaba emilimu nabyo bikyuse nga kekadde abavunanyizibwa ku kubangula n’okufulumya abayizi ku katale k’emilimu nabo bakyuse kyebafulumya kitambule n’omulembe.

Buno bubadde bumu ku bubaka bwe bwatisse Minister w’eby’enjigiriza bya amasomero ga Primary Joyce Moriku Kaducu, bw’abadde ku matikkira ga Bugema University ag’omulundi ogwa 28 esangibwa wali e Bugema mu district eye Luweero.

Mukya Museveni ayongedde okukinogaanya nga zi setendekero bwezitasanye kusuulira kunoonyereza wamu n’okufulumya ebyo byebabeera bazudde, kuba eno yengeri yoka gyebaggya okuba nga bayambyemu eggwanga mu kukyusa embeera za bannansi n’eggwanga okutwalira awamu.