Amawulire

Janet aweze ebyókukyusa abasomesa basiniya

Janet aweze ebyókukyusa abasomesa basiniya

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Minisita avunanyizibwa ku byenjigiriza Janet Museveni, aweze okukyusibwa kwa basomesa ba siniya aba gavt.

Bino byogeddwa omwogezi wa minisitule eno Dr Dennis Mugimba era ngekiragiro kino kitandikirawo.

Ono agambye nti kino kitukidwako oluvanyuma lwokufuna okwemulugunya kunkola eno

Mugimba agambye nti ekiragiro kino kyakugibwawo oluvanyuma lwa kakiiko ka education service commission okumaliriza omulimo gwokukakasa abasomesa bonna mu masomero ga gavt.