Amawulire

Janet asabye abasomesa okudda ku mirimu

Janet asabye abasomesa okudda ku mirimu

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2021

No comments

FRile Photo : Mukyala Museveni

Bya Damali Mukhaye,

Minisita avunanyizibwa ku byenjigiriza mu ggwanga ne byemizannyo Janet Museveni asabye abasomesa mu matendekero ga gavumenti aga waggulu okwekuba mu kifuba baddemu bakwate ennoni basomese abayizi.

Kinnajjukirwa nti ngennaku zomwezi 6th February, abasomesa bano bateka wansi ebikola nga bawakanya ekya gavt okubakandaliriza enyo mu kutukiriza ekisuubizo kyokubongeza omusala.

Bano babanja obuwumbi 129.

Wabula mu bbaluwa eyawandikibwa minisita Janet Museveni asabye abasomesa okudda ku mirimu kuba gavt ebalowoozako nyo wabula entabwe evudde kubbula lye nsimbi mu kiseera kino ne tasobola kutukiriza bweyamo.

Abasomesa bakwevumba akafubo bakubaganye ebirowoozo ku bigamba bya mukyala MUSEVENI balabe ekidako