Amawulire

Jamil Mukulu akomawo mu kooti olwaleero

Ivan Ssenabulya

May 28th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

File Photo: Mukulu ngali ku npingu

Okwetegekera omusango gweyali akulira abayekera ba ADF Jamil Mukulu kusubirwa okutandika amakya ga leer mu kooti enkulu ewozesa ba kalintalo.

Okutandika okwetegekera eomusango guno na biki ebigukwatako kwalina okutandika nga May 14th ekitasoboka oluvanyuma lwomuwaabi wa gavumenti John Baptist Asiimwe okusaba kooti wiiki endala bbiri okwetegeka obulungi, alyoke alage obujulizi bwe bwonn bwatekateeka okuleeta.

Asiimwe yategeeza omulamuzi Eva Luswata ali mu itambo gyomusango guno nti ssbawaabi wa gavumenti aliko obujulizi ku butambi bweyafuna okuva mu gwanga lya Tanzania 2 emyezi mitono emabega, kalenga yali yetaaga obudde okubwekenneya.

Mukulu nabalala 37 okuli nomukazi bavunanibwa emisango gya butujju, obytemu, obwa kkondo nokutyoboola eddembe lyobuntu nemiralala.

Mukulu kigambibwa nti yaluka olukwe okugezaako okusuula gavumenti  bweyatandika okutta abantu mu bitundu bye Rwenzori mu Bugwanjuba bwa Uganda oluvanyuma nakola enkambi mu bibira ebisangibwa mu gwanga DR. Congo.

Ono bamukwatyira mu Tanzania mu April wa 2015 nebalyoka bamuzza kuno.

Omulala bwebavunanibwa naye ye Dr. Aggrey Kiyingi omusawo munn-Uganda akolera mu gwanga lya Austria.