Amawulire

Insurance Regulatory Authority Bajitutte mu kooti

Ivan Ssenabulya

June 4th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Waliwo munamateeka atutte ekitongole ekirunganya zi insuwa  mu gwanga ekya Insurance Regulatory Authority mu kooti, ngabalanga kusolooza  insure eza motor third party kyoka nga tezigasa bantu.

Third party eriwo kugasa muntu atali nanyini motoka oba agivuga, wabula akoseddwa mu kebenje akabeera kagudde ku motoka.

Kati  musajja mukulu ono Steven Ssekigozi agamba nti awakanya ekyokusasula insuwa eno mungeri eyobuwaze, atenga nensimbi tezifanagana.

Ssekigozi ono agamba nti mu musango gweyateeka mu kooti nga  30th May, awakanya enkola eno kubanga endagaano ya insuwa elina kuba yakyeyagalire.

Kati ono agamba nti ensonga endala emuluma kwekuba nti emotoka za gavument teziwa insuwa eno, kyokanga nazo ziyinza okukola obubenje.

Kati ono akalambidde ngagamba nti bano abalungamya insuwa bagobwe kubanga omulimo gulabika gubalemye.

Ono okugenda mu kooti yayise mu banamateeka aba Tropical Law Advocates, ngera yawabidfde ne Bank ya Uganda ne ssbawolereza wa gavumenti.

Mukaseera kano emotoka zisasula third paryy wakati wemitwalo 3, 4, atenga endala ziwa emitwalo 8.

Kati kooti tenaba kulaga lunnaku omusango lwegunatandika okuwulirwa.