Amawulire

IGG waakunonyereza ku mbalirira y’okuziika Oulanyah

IGG waakunonyereza ku mbalirira y’okuziika Oulanyah

Ivan Ssenabulya

March 31st, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Christine Nakyeyune

Kalisoliiso wa gavumenti asubizza okwekennenya nokunonyereza ku mbaliririra y’okuziika, abadde sipiika wa palamenti Jcob Oulanyaha, gyayise “obscene cash bonanza” mu lunyanyimbe.

Kalisoliiso Betty Kamya mu kiwandiiko kyafulumizza agambye nti agenda kukismbako amannyo, ngeemu kungeri yokujjukira omugenzi Oulanyah kubanga abaddenga tawagira nguzi nomulundi nogumu eranga agivumirira.

Okusinziira ku Betty Kamya, Oulanyah teyandibadde musanyufu ku bikolwa bino era naye tagenda kukiriza.

Ayogedde ku bubaka bwa Oulanyah, bweyawa mu 2019 oluvanyuma lwokutambula okwokulwnayisa enguzi oba Anti-Corruption Walk nga yategeeza nti enguzi eri wona, era buvunayizbwa bwa buli omu okujirwanyisa.

Mu kusooka akakiiko akategeka okuziika kabaddi kabaze embalirirra ya buwumbi 2 nekitundu, wabula baagisazeeko obukadde 700 nebajiza ku kawumbi 1 nobukadde 800.

Oulanyah yafa nga 20 March mu gwanga lya America, gyebaali bamututte okujanjabibwa.

Omubiri gwomugenzi gusubirwa okutuuka mu gwanga olunnaku lwenkya, atenga ajja kuzikibwa nga 8 April.

Mungeri yeemu, akulira emirimu ku disitulikiti ye Pader Chelimo Alex atandise ku kawefube wokuonda ssente, ezokuwagira emirimu gyokuziika abadde sipiika wa palamenti Jacob Oulanya.

Mu kiwandiiko CAO kyeyafulumizza nga 29 March eri enkiiko eza wansi ku mutendera gwa tawuni kanso namagombolola, buli lukiiko lutekeddwa okuvaamu ensimbi.

Aba tawuni kanso babasalidde emitwalo 50 atenga amagombolola emitwalo 30.

Chelimo agambye nti balina ekkatala nga disitulikiti ye Pader okwetaba butereevu mu ntekateeka z’okuziika.