Amawulire

Gwebasanze ne ttiyagaasi gamumyuse

Gwebasanze ne ttiyagaasi gamumyuse

Ali Mivule

July 6th, 2015

No comments

 

Poliisi ye Matete  eriko omusajja ow’emyaka 30 gwekutte lwakusangibwa nakakebe ka tiya gaasi.

Edward Kawawa y’akwatiddwa ne tiya gaasi ono wamu n’engatto za poliisi .

Kawawa okukwatibwa kyaddiridde okuteega abantu abaabadde badda ewaabwe nga bava ku mwleso n’ababba obutabalekera kantu.

Muliraanwa wa Kawawa yeyatemezza ku poliisi oluvanyuma lw’okulaba ebimu ku bintu bye ebyamubibwako mu maka ga Kawawa.

Kigambibwa nti Kawawa ne banne abakyaliira ku nsiko bebali emabega w’okumenya amayumba mu kitundu kya Matete Tawuni Kanso.

Atwala eby’okunonyereza ku misango ku poliisi ye Matete Gregory Nuwagaba ategezezza nga bwebewunyizza okusanga akakeeb ka tiyagaasi n’engatto za poliisi mu maka ga Kawawa.

Agamba era bazudde ebyamasanyalaze nga paasi ssaako nezibulangiti ebizze bibibwa mu kitundu.

Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Noah Sserunjogi akakasizza okukwatibwa kwa Kawawa nga asuubirwa okugulwako ogwobubbi.