Amawulire

Gwebakutte ng’abba yefumise ekiso

Gwebakutte ng’abba yefumise ekiso

Ivan Ssenabulya

March 12th, 2021

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Omusajja gwebakwatidde mu bubbi, yefumise ekiso mu lubuto, ngatya abantu babulijjo okumukuba okumumiza omusu.

Joseph Mwanje owemyaka 30 kyadirirdde okumusanga lubona mu nnyumba yomukazi, nga yefulukuta agezaako okubba.

Kati awereddwa ekitanda ku ddwaliro lya Mum’s go hospital nga kigambibwa nti ono baali bamukwatidde Maganjo mu Wakiso.

Mwanje agambye nti yli amaze ebbanga, ngalondoola omukazi ono era kwolwo yamulabiriza agenze ewa mulirwana we, nayingira mu nnyumba ye naye kyamwewunyisa nyi yakomawo mangu.

Kati olwokutya nti abantu baali bagenda kumuttira mu bukambwe yasalwo yefumire ekiso afe, naye teyafa.