Amawulire

Gwebaasanga mu kisulo ky’abawala w’akukola bulungi bwansi

Gwebaasanga mu kisulo ky’abawala w’akukola bulungi bwansi

Ivan Ssenabulya

August 13th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Omulamuzi we ddala erisooka mu kooti ye Kaliro Wilberforce Egessa asalidde omusajj ow’emyaka 26, gwebasanga mu kisulo kyabayizi abawala, ekibonerezo kyakukola bulungi bwansi okumala emyezi 2.

Saddam Tagenya nga mutuuze mu kabuga ke Kaliro asingisddwa omusango gwokusaalimba, nga gweyazza nga 28 July bwebamusanga mu kisulo kyabawala ku ssomero erimu mu budde bwekiro.

Ono baamusanga ku ssomero lya Bright future Senior Secondary School erisangibwa e Kaliro.

Kati bamulagidde okusaawa n’okulonoosa kaabuyonjo ku kooti, okumala emyezi 2.