Amawulire

Govumenti yakwewola abasawo mu Cuba ne China.

Ivan Ssenabulya

December 4th, 2017

No comments

Bya Emmanuel Ayinebyona.

 

 

Government etegeezeza nga bwerina entekateeka ey’okubaako abasawo  bereeta okuva mu mawanga nga China ne Cuba abasoba mu 200 bajanjabe banna-uganda.

Mukaseera kano tutegeezeddwa nti government etadewo akakiiko ak’enjawulo  nga akulirwa ,minister w’ebyobulamu Dr Jane Achieng okukola ku  nsonga eno  mubanga tono ddala.

Akakiiko kano kasubira okulambika emirimo gy’abasawoo bano abagenda okuletebwa,obukugu obubeetagibwamu,kko n’engeri gyebagenda okukolaganamu n’abasawo abaawano.

Twogedeko ne Mminister Jane Dr Acheng  n’agamba nti kituufu ensonga eno etesebwako, wabula nga abasawo abaleetebwa tebagenda kutwala kifo ky’abasawo ba uganda, wabula kubayambako.

Twogedeko ne  Dr. Mukuzi Muhereza nga ono ye ssaabawandsiisi we ekibiina ekya Uganda Medical Association ekitaba abasawo bano, n’agamba nti tebaamaze kubeebuuzako , era nga tebamanyi kigendererwa kya government .